Explore
Also Available in:

‘Akatyabaga akaleetebwa enjigiriza y’okufuuka kw’ensi’?!

Kyawandiikibwa Don Batten, munnasayansi omukulu, CMI-Australia

Kino kyasooka kulabikira mu CMI-Australia, CMI-Singapore, ne CMI-UK/Europe’s Update, February 2022.
15835-steamroller

Ng’omuvubuka omuto, Christopher Beckingham yali akkirizza Yesu Kristo.1 Wabula, bwe yasoma eby’obulamu “yasuulibwa mu katyabaga”, nga bwe yakyogera. Yakizuula nti okufuulibwa kw’ensi, nga bwe kisomesebwa bannabyanjigiriza abakulu, kikontana n’enjigiriza ya Baibuli ekwata ku Butonzi n’Okugwa kw’omuntu mu lubereberye. Zombi zaali tezisobola kubeera ntuufu, yalowooza, era n’ateeka ‘okukkiriza’ kwe mu ‘mazima’ ga ssaayansi.

“Mu ngeri eno kyalabikanga ekiwero eky’okukkiriza ekisikiddwa okuva wansi w’ebigere byange, era waayita emyaka munaana miramba nga sinnaddamu kwesiga Mukama.”

Mu kusooka, Christopher yali yeenyigira mu kukubaganya ebirowoozo ku kutonda/n’okufuuka kw’ensi ne taata we omukkiriza, naye yeyongera obutafaayo ng’akakanyaza omutima gwe eri Katonda.

“Nnakakanyaza omutima gwange nengaana Katonda, nga nnenyigira mu butali butuukirivu, mu bukaba, mu bubi n’okwegomba. Nneeyongera okubeera omuntu afaayo ku ki kyenkoze era omukambwe nga bwenneyongera okugoberera okwegomba kwange.” Endowooza ye yagigeraageranya n’abo Omutume Pawulo be yayogerako mu Abaruumi 1:22: “Bwe beeyita ab’amagezi, so nga baasiruwala,”.

Yawulira nga tayinza kuwangulwa era n’alowooza nti amagezi ge n’amagezi g’ensi byandimuwa kyonna ky’ayagala. Yatuuka n’okunoonyereza ku njigiriza enkyamu.

Okukakkanyizibwa wansi

Wabula mu mwezi ogw’omwenda (September) ogwa 2016 Christopher yakkakanyizibwa.

“Ng’ekimu ku kulafubana kwange, nnafuna okulumizibwa kw’omutwe okw’amaanyi era nendwala nnyo —nga nsesema, nga mbeera ku ndiri, era nga ssisobola nakulowooza butereevu kulw’obulumi obwo. Kino kyagenda mu maaso ne kireeta ekifu mu kulaba kwange era nenkomekkererezza mu ddwaaliro.”

Mu kiseera ekyo, taata wa Christopher yafuna tikiti okwetaba mu lukungaana olusooka olwa CMI-mu London ekya Bungereza/mu Bulaaya. Olukungaana luno lwa Bulaaya yenna olukwaata ku kutonda (era abantu lukumi beebalwetabamu). Christopher agamba nti, Olw’okussa ekitiibwa mu taata we, era n’okwagala ennyo okumanya, Christopher yagenda naye mu lukungaana luno.

“Wadde nga nnali nkyafuba okussaayo omwoyo, nnakwatibwako nnyo naddala [Pulofeesa] Stuart Burgess ng’ono ekitabo kye ekiyitibwa Hallmarks of Design kyali kyamugaso nnyo gyendi. Nzikiriza nti kano kaali kabonero akalaga okugwa kw’ekigo okufuuka kw’ensi kyekwalina ku bulamu bwange.”

“Kaakano nnali mwetegefu okuyiga ku Katonda ky’ali, era kino kyali kyetaagisa okumutegeera ng’Omutonzi n’okukkiriza emboozi y’Olubereberye, awamu n’okukimanya nti ku lwange sirina kye nsobola kukola, omunafu eyetaaga okwesigamira ddala ku Ye.”

Yasiima nnyo obugumiikiriza n’okusaba kwa bazadde be n’ab’omu maka ge mu kiseera kyeyamala mu ddungu. Tebaakisiindikirizanga, wabula beesiga Mukama ne basaba.

Christopher yafuna ekkanisa ekkiririza mu Baibuli, era n’atandika okusomera ddala Baibuli ye n’obunyiikivu, era n’abatizibwa. Oluvannyuma y’afuna oluwummula lwe olw’omwaka, lweyamala ng’atambula ensi yonna n’okukyalira amawanga ag’enjawulo.

“Buli kye nnalaba kyali kibaguka n’okutendereza Omutonzi: emmunyeenye, ennyanja, ensozi, ebinyonyi… Mazima ddala nnali mukwewunya obulungi bw’ebitonde omulundi ogwasooka.”

Nga Yesu bwe yayogera, “Nze najja zibe n’obulamu, era zibe nabwo obungi.” Yokaana 10:10b

Si yekka

Bangi batambudde olugendo olufaananako ng’olwa Christopher, eyakuzibwa ng’alina okumanya okutonotono ku Njiri wabula n’abikyaawa bweyatandika okuwulira enjigiriza y’abakkiririza mu kufuuka kw’ensi (evolution). Muno nga mulimu amannya agamu agamanyiddwa ennyo, gamba nga Richard Dawkins ne E.O. Wilson. Oyo asembayo (era amanyiddwa nga ‘Darwin ow’omulembe guno’ era eyayiiya ekigambo ‘scientific humanism’ ekivvunulwa nti, sayansi ng’enkola ebeezaawo omuntu), yaleetera byonna okukwaatagana,

“Ng’abantu abangi okuva mu Alabama bwe baali, nange nnali Mukristaayo eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri. Bwennaweza emyaka kkumi n’etaano, nnegatta ku kkanisa ya Southern Baptist Church n’omuliro mungi n’okuyaayaana okumanya ebikwaata ku misingi gy’eddiini eno; Nnavaayo ku myaka kkumi na musanvu bwe nnatuuka mu Yunivasite ey’e Alabama ne mpulira ku ndowooza y’okufuuka kw’ensi.”2

Manya kino nti, abantu bangi abafaanana Dawkins ne Wilson, tebawakanya buwakanya kubeerawo kwa Katonda kyokka, wabula era bakola nnyo okutumbula enkola y’okwegaggawaza n’okuba n’ebintu era bwe batyo basanyeewo okukkiriza kw’Ekikristaayo mu abo abalabirako.

Wilson ye pulofeesa eyawummula emirimu gy’okusomesa mu Harvard University era mukugu mu nsi yonna ku bikwaata ku biwuka. Yagenda mu maaso n’agezesa bye yazuula ku biwuka ng’abigeraageranya ku bantu n’enneeyisa y’abwe. Yayiiya ekigambo ‘sociobiology’, nga kino kwe kugezaako okunnyonnyola enneeyisa y’omuntu, omuli empisa zaabwe n’okufaayo ku balala, mu ngeri ya Darwin (eno nga eva ku ndaga bulamu zaffe oba ziyite ‘genes’). Era nti ‘Ekibi’ kiva mu nsengeka y’obuzaale bwaffe, n’ensibuko yaffe eva mu kufuulibwa, so ssi mu kusalawo kwaffe okw’empisa okunyiiza Katonda omutukuvu.

Okweyongera kw’obutakkiririza mu Katonda

Okunoonyereza ku mbeera z’abantu kulaga omulimu gw’enjigiriza y’okufuuka kw’ensi bwekuyongedde abantu obutakkiririza mu Katonda (secular humanism, ekivunuulwa nti abantu okwebezaawo) mu nsi ezaali ez’Ekikristaayo nga Bungereza, Australia, New Zealand, ne America. Okugeza, okunoonyereza kwa McCrindle kwazuula nti ebitundu ebisukka mu ataano ku kikumi (53%) ku bannansi ba Australia bonna bagamba nti ssaayansi n’enzikiriza y’okufuuka kw’ensi muziziko munene eri Obukristaayo bwabwe era nti omuntu omu ku buli bantu (ekitegeeza ebitundu 34%) bagamba nti ebaziyiza nnyo nnyini ddala.3 Tewali kintu kyonna mu kugezesa kwa sayansi kikendeeza ku nzikiriza y’Ekikristaayo; okujjako enkola eno yokka ekkiririza mu kufuuka kw’ensi y’ekikola yokka.

16858-atheism-chart
Ebiwandiiko ebiraga obungi bw’abantu mu Australia biraga okweyongera kw’abantu abatakkiririza mu Katonda. Okuva mu 1901 okutuuka mu 1966 abantu wansi wa 3% beetwala nga ‘abatalina ddiini’, naye omuwendo gwalinnya buli lukya okuva mu 1971 okudda waggulu okutuuka ku bitundu ebisukka mu 30% mu 2016.

Kiki ekyakyuka mu myaka gya 1960 ekiyinza okuvaako okulinnya kuno okw’obutakkiririza mu Katonda? Ebitongole by’ebyenjigiriza mu gavumenti byayanjula okusomesa eby’okufuuka kw’ensi (evolution) eri abayizi ba siniya eya wakati mu ssomo lya sayansi. Okutuuka mu kiseera ekyo, abayizi ba siniya abakulu bokka abasoma eby’obulamu be baafuna okusomesa okw’Okufuulibwa, ekitundu ekitono ennyo ku muwendo gw’abayizi bonna.

Enkola ezifaananako bwe zityo zisobola okulabibwa ne mu mawanga amalala, ng’okugeza mu Amerika:

“Okufuuka kw’ensi … kw’ali tekwogerwako n’akatono mu bitabo by’amasomero okutuuka mu myaka gya 1954 … Oluvannyuma lwa Sputnik [mu 1957] … okusoma ku kufuulibwa kw’ensi olwo nekwayanjula mu bwangu mu masomero gonna.”4

Ebibalo by’embeera z’abantu ebya buli ngeri (okugeza ng’ebikwaata ku misango egyekuusa ku bintu ebikalu, obuzzi bwemisango, okwetta, abaana abazaalibwa ebweru w’obufumbo) byonna byeyongera oluvannyuma lw’okusomesa abayizi ebikwaata ku by’okufuuka kw’ensi.

Okugezesa okugoba Katonda mu ggwanga kubadde kukolebwa emabegako okumala enfunda eziwerako. Era ebiva mu kikolwa kino bibadde bye bimu; akavuyo era n’ennaku. Tusoma ku bimu ku kugezesa kuno mu bitabo bya Bassekabaka, Ebyomumirembe, awamu n’Abalamuzi mu ndagaano enkadde.

Nga tusoma ebyafaayo ebyakabaawo emabegako, tulaba kino byekireeta mu mbeera z’abantu mu nsi nga Bungereza ne Amerika ng’okugolokosebwa okwamaanyi’ tekunabaawo mu Amerika nebevuganya nabo, okutandika ne Jonathan Edwards mu myaka gya 1730 ne 1740, n’ebiseera ebyaddirira okutuuka mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda. Ekibiina kino era kyakwata nnyo ku mawanga amalala ag’alina ebyafaayo byo’bukristaayo obwekiseera ekiwerako, wabula nga nabyo byali ‘biwuguddwa’, okugeza nga Bungereza (John Wesley, George Whitefield). Era kino kyasasaanira mu mawanga nga Australia ne New Zealand mu myaka gya 1800 ng’abantu bangi bakyuuka ne bakkiriza Kristo n’okusimba amakanisa. Omu ku bajjajjange yasumba ekkanisa emu mu massekati g’ekibuga Sydney mu myaka gya 1920 nga wano yali avunaanyizibwa ku kkanisa y’abaana 500 (ng’eno okusinga yali yewabweru wakizimbe!).

Singapore ng’eggwanga yali kikeerezi mu nkungaana z’okugolokoka eza John Sung ez’emyaka gya 1930, olw’okuba nti waali wakyaliwo enkyuukakyuka ey’amaanyi eyali ekyawulirwa n’okutuusa leero.

“Abantu beerabidde Katonda”

Mu kwogera kwe mu 1983, Aleksandr Solzhenitsyn yagamba nti,

“…singa nnasabibwa leero okunnyonnyola mu bufunze ensonga enkulu eyavaako okwononekera ddala kw’abantu baffe obukadde nga nkaaga, siyinza butakyasanguza nga nkiddingana nti: Abantu beerabidde Katonda; y’ensonga lwaki bino byonna bibaddewo.”

Tekyewuunyisa nti ensengeka y’ebisomesebwa eragirwa mu gavumenti za Soviet Union yasimba essira ku njigiriza ey’okufuuka kw’ensi (evolution).

Era enjigiriza eno eri mukusaanyaawo ‘amawanga g’abazungu’ (ago edda ag’ali amawanga g’Abakristaayo ag’amaanyi). Daniel Dennett, ng’ono takkiririza mu Katonda, mu kitabo kye Darwin’s Dangerous Idea (ekivvuunulwa nti, ‘endowooza ya Darwin ey’obulabe’), annyonnyola ku kufuuka kw’ensi ng’asidi w’ensi yonna “alya kumpi buli ndowooza y’obuwangwa bwonna”. Era mazima ddala bwe kityo bwekiri. Okusinziira ku kunnyonyola okwebuziba—nga bwe kinnyonyolwa ku kufuuka kw’ensi—okufa, okubonaabona, n’endwadde byaliwo mu nsi okuva ku ntandikwa kwayo, bwe kityo nti ekibi ky’omuntu ssi kyekyabireeta. Bwe kiba nti Adamu eyasooka teyaleeta kufa na kubonaabona, olwo awo wennyini amakulu g’okubonaabona n’okufa kwa Adamu ow’okubiri (1 Abakkolinso 15:21,22,45) gaba tegakyatwalibwa nga kikulu. Enjiri ekyasanguza. Kino era kireeta okubuusabuusa obulungi bwa Katonda n’obwesigwa bwa Baibuli, n’ebirala bingi.

Obuweereza obunnyonnyola ku kutonda tebubangako bukulu okusinga bwe buli leero. Ekyomukisa omulungi, tulina emikisa mingi okunyweza okukkiriza kw’abavubuka okubayamba okwewala okuba mu katyabaga akaleetebwa ensomesa eno ey’okufuuka kw’ensi.

Webale nnyo olw’okuba ekitundu mu kutuyamba okukola bye tukola. Era tusiima nnyo okutuzzaamu amaanyi, okusaba kwamwe, n’obuwagizi bwammwe bwamugaso.

ebifulumiziddwa 4 Ogw’okuna 2023

Ebiwandiiko ebijulizibwa

  1. Buno obujulizi bwagyibwa mu, Gardner, C., Broken—era ne buddamu okuzimbibwa (Broken—and rebuilt), Prophecy Today UK, 07 May 2021; prophecytoday.uk/comment/church-issues/item/2208-broken-and-rebuilt.html. Ddayo ku kiwandiiko.
  2. Wilson, E.O., Omukugu mu by’Obuntu (The Humanist), September/October 1982, omuko 40. Ddayo ku kiwandiiko.
  3. Okunoonyereza kwa McCrindle, Okukkiriza n’enzikiriza mu Australia (Faith and Belief in Australia), omuko 33, May 2017. Ddayo ku kiwandiiko.
  4. Lewontin, R., Yunivasite ya Harvard, Bannasayansi boolekanye nenzikiriza y’obutonzi (Scientists Confront Creationism), Godfrey, L.R. (omuwandiisi), W.W. Norton, NY, lup. xxv. Ddayo ku kiwandiiko.

Further Reading