Explore
Also Available in:

Mmanyi Kyenzikirizza

Obutonde bwakkirizisa yinginiya ono eyafuuka omusumba okubeera n’obuvumu mu njiri

Ekiwandiiko kino kiva mu… Okutondebwa 44(2):42–45, April 2022

Mark Emerson nga anyumya n’Omusumba Victor Soo ku ngeri obutonde gye bukyusizza obulamu bwe.

victor-crystal-soo
Omusumba Victor ne Crystal Soo

Kizibu okulowooza ku nkyukakyuka ey’amaanyi mu lugendo lw’obulamu okusinga eya Victor Soo. Yazaalibwa mu Malaysia, kitaawe yali muntu akkiririza mu by’obuwangwa, era ng’akkiririza mu bakatonda bangi nnyo, naye nga ye tagendangako mu yeekaalu zaabwe. Wadde nga nnyina yalimukko obukristaayo, wabula teyagendangako mu kkanisa era teyatwalangayo Victor. N’olwekyo, eddiini teyalina kye yali etegeeza gy’ali.

Wabula kati, Victor ye Musumba Omukulu mu kkanisa ya Reach Community Church, e Melbourne mu gwanga lya Australia. Ng’ali wamu ne Crystal, mukyala we owe emyaka 43, yatandikawo ekkanisa eno emyaka 20 egiyise, mu mwaka gwa 2002. Enkyukakyuka eno ennene yatuukawo etya?

Oli wa ddiini ki?

Victor nga ajjukira emyaka gye yasomera mu pulayimale:

Ku lunaku olwasookeranga ddala mu kibiina, omusomesa bwe yakuyitanga erinnya lyo mu katabo k’abo abaaliwo, wali otekwa okuyimirira n’ogamba nti, “wendi!” Olwo ne basaba okumanya eddiini yo. Bulijjo nabaddangamu nti “Tewali”. Buli mwaka twayitanga mu kino.

Ng’omuntu ateeka ebintu mu’nkola, Victor olunaku lumu yatandika okubuuza abayizi abalala kye bakkiririzaamu era yakizuula nti:

Abasinga baddangamu nti “simanyi”. Abalala baagamba nti “Obusiraamu”, “Buddha”, “Omuhindu”, n’ebirala ebiringa ebyo. Naye bwe nnababuuza ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza zaabwe, baali tebamanyi kye baali bakkiririzaamu. Nnawulira nti singa nnali nzikiririza mu ddiini yonna, nnandikakasizza nti mmanya kye nzikiririzaamu.

Emyaka bwe gyayitawo, Victor yasisinkana amadiini ag’enjawulo bweyali mu Malaysia. Yakyalira amasinzizo n’emikwano, naye nga tatera kukyalakyalayo. Victor agamba nti:

Ssalaba bagoberezi b’addiini y’Ekihindu oba Buddha nga batuukiriza enzikiriza zaabwe. Era kyanneewuunyisa nti taata yali akkiriza nti eddiini ye yali ewagira zzaala. Ne maama naye yali ayagala nnyo okuzannya zzaala.

Victor bweyali akula, yasisinkana ebintu bingi eby’omwoyo, era bwatyo nakakasa nti waliwo ensi ey’omwoyo. Victor ajjukira omuntu omu eyali yenyigira mukusinza ‘katonda w’enkima’ ng’omwoyo gwayo guyitibwa omusamize eyagenda mu mbeera ey’okulabikirwa, oluusi n’akola ebikolwa eby’omubiri ‘ebisukkulumye ku by’omuntu’. Ebirala byali bizingiramu abagoberezi okusaba katonda bafune obuvumu okulwana, okuloga abafu, n’okwefumita nga batambulira ku manda agaaka. Naye tekyalina makulu. Awo Victor yagamba nti, “Mu mutima gwe yabuusabuusa ebigendererwa by’emikolo gino. Era lwaki baalaga embeera ey’okutya?”

Victor agamba nti, “Nzijukira n’okugenda mu kkanisa ku Ssekukkulu, n’okujjukira ab’eŋŋanda z’Abakristaayo.” Bwe yali akyali muvubuka, Victor yayanirizibwa muliraanwa we okugenda mu kkanisa.

Nnalaba engeri abantu gye baalina enkolagana ennungi ne bannaabwe. Waaliwo ebbugumu linji n’omukwano. Nnanyumirwa nnyo okuyimba. Nnawulira obutebenkevu, era nnawulira nga kye’kifo we nsobola okubeera n’ensobola okubeera mu mbeera zange ng’omuntu. Nnawulira bulungi era nga ndi mutebenkevu.

Omulundi omulala yagenda mu lukungaana lw’Abakristaayo mu kisaawe n’alaba abantu nga bawonyezebwa era nga batambula okuva ku miggo gye baali bazze nga batambulirako.

Victor bwe yakula, yafuna enkolagana n’Obukristaayo. Era agamba nti:“Nnali nzikiriza nti emboozi ya Yesu yeyali esinga okwesigika.” Naye obulamu bwagenda mu maaso era yeenyigira mu bintu ebitaali bimu.

smoke-alarm
Victor ye yakola dizayini era n’afuna obukakafu bwa alamu eno eyasooka mu nsi yonna ey’okufuuwa omukka mu maka nga ewuliziganya n’ebyuuma singa omuliro gukwaata. Eno ekyafulumizibwa ne ku katale k’ensi yonna.

Ensi empya

Mu mwaka gwa 1970 Victor yajja mu Australia okunoonya obulamu obupya, okusoma n’okukulaakulana. Yamaliriza Dipuloma mu by’okukanika, Satifikeeti mu tekinologiya w’amasannyalaze agakulukuta, ne Dipuloma mu by’eddiini. Mu mulimu gwe nga yinginiya, Victor yakola enteekateeka nnyingi ez’okugonjoola ebizibu ebyaali mu nkola y’emirimu makolero, muno nga mwemuli ag’emmotoka n’agebyokusima eby’obugagga eby’omu ttaka era yatuuka ku buwanguzi bungi. Yakola dizayini era n’afuna ekiwandiiko ekikakasa alamu y’omukka ey’amayumba esookera ddala mu nsi yonna eyakkirizibwa nomutindo ogwa Australia (waggulu) esobola okukwatagana n’enkola za alamu ez’ettunzi. Ekintu kino kikyali mu kukolebwa ku katale k’ensi yonna. Yakola enkola ey’enjawulo okugonjoola obuzibu mu nkola ya waya za masanyalaze n’entambuza z’amazzi eza buli ngeri. Kyalokolera kkampuni gye yakolera obudde bungi ne ssente. Era ye yakola dizayini y’ekifo eyekitongole kino awatendekerwa mu kkampuni eno. Ensoma ennene gye yawandiika yafuna olukusa okuva mu kitongole ekitendeka abantu mu ggwanga ekya Victorian State Training Board for Industrial Automation. Buli mwaka, era yayanjulanga eri abayizi abasoma ebyokufuuka bayinginiya w’okukanika abali mu mwaka ogusembayo ku nkulakulana mu tekinologiya omugya ow’amakolero.

soo-family
Waggulu ye musumba Soo eyenyumiriza mu mulimu gw’obusumba ng’aliwamu ne mukyala we Crystal Soo, abaana babiri ab’obulezi, n’omuwala omu nga bali n’ababeezi baabwe n’abazzukulu.

Wadde nga Victor yatuuka ku buwanguzi buno, teyafuna kutuukirizibwa. Ku ntandikwa y’omulimu gwe, wiikendi ze yazimala ng’anoonya essanyu. Yagendanga nnyo mu bifo ebisanyukirwamu ne McDonalds, ng’azannya pinball okuwangula bbiya, okunywa sigala, okunywa omwenge, n’okuzannya zzaala ku mahjong. Victor yagamba nti, “Nnawulira ng’obulamu bwange buwubaavu nnyo. Ssaafuna kumatira, era nnatandika okulowooza ku kigendererwa ky’obulamu.”

Enkyukakyuka mu ye yabaawo bwe yasisinkana mukwano gwe Omukristaayo. Victor yeewuunyisa mukwano gwe bwe yamubuuza oba asobola okugenda naye mu kkanisa. Awo, Victor yaddamu okuwulira okwagala kw’abantu, nga bwe yali mu kkanisa ng’akyali muto.

Obulamu obupya

Victor yannyonnyola nti:

Omuntu gwe nnayogera naye mu kkanisa yanyinyonyola nti amadiini amalala gonna gafuba okusemberera Katonda, okufuna obulamu obulungi, n’okutuuka mu ggulu. Omuntu ono yannyonnyola nti mu Yesu kino kyali kikontana n’ekyo era nti Katonda atutuukako okuyita mu ye. Emboozi zino zankwatako nnyo.

Yantegeeza engeri Yesu gye yali Katonda, n’engeri gye yava mu ggulu ng’omuntu okutulokola. Nnayiga nti Yesu yafa nga ssaddaaka olw’ebibi byaffe ku musaalaba, tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Nneewuunya nnyo okukimanya nti Yesu yafa okusinziira ku bunnabbi obuli mu Baibuli, era nti yazuukira mu bafu ng’Ebyawandiikibwa bwe byagamba nti ajja.

We yatuukira mu wiiki ey’okutaano ng’agenda mu kkanisa, Victor yafuna Kristo. Yokaana 3:16 yamukomako nnyo: “Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”

Bwati Victor bweyannyonnyola:

Kino kyamukyuusa nnyo. Nnawulira okwagala kwa Katonda gyendi nga kungi nnyo, era ne mpulira nti kati ndi kitonde ekiggya. Nnasanyuka nnyo. Sategeera bingi birala ku ebyo ebyali bibaddewo, kyokka nti okwagala kwa Katonda kwankwatako nnyo era mu buziba.

Kino kyalina kye kyakola amangu ddala. Bwe yaddayo eka, yagamba mukyala we Crystal, omulundi gwe ogwasooka nti, “Nkwagala!” Mu buwangwa bwe ekyo tokikola! Naye, okuva ku lunaku lwe yamanya Mukama waffe Yesu Kristo, Victor yawandiikiranga ab’omu maka ge buli wiiki. Mu buli bbaluwa yafunzanga obubaka bwenjiri bweyabanga awulirizza. Era yabakubira amasimu okuva gye yali era ngaa gano g’ali gabbeeyi nnyo. Bwe yategeeza nnyina nti afuuse mukristaayo, era nti amwagala, ye yalowooza nti yali ku biragalalagala. Amaanyi ga Katonda gaamuzza obuggya buli kiseera.

Enkyukakyuka mu bulamu bwe yali yeeyoleka nnyo ekyaleetera ne mukyala we eyali akyakkiririza mu bakatonda abangi n’obufumu mu kiseera ekyo, naye okuwaayo obulamu bwe eri Yesu. Okuva olwo, Victor akulembedde nnyina, era ne baganda be babiri okujja eri Kristo. Victor ne mukyala we kati balina abaana basatu n’abazzukulu mukaaga.

Asisinkaniddwa n’obutonzi

Nga wayise akaseera katono ng’akkiriza Kristo, Victor yayiga ku butonzi, engeri Katonda gye yatondamu ensi. Kino kiri mu Baibuli mu kitabo ky’olubereberye!

Victor nannyonnyola nti,

Ekyo nga tekinnabaawo, nnali siwulirangako ku Katonda okutonda ensi. Mu masomero gonna nnasomesebwa emboozi emu yokka ekwata ku nsibuko n’enkulaakulana y’obulamu, era eyo yali okufulibwa. Era kino kyennakkiriza nti ky’ekituufu. Nnakitwala nti waliwo obujulizi bungi obulaga nti ebintu byali biva mu kufulibwa, n’olwekyo ssabuusabuusangako ebyo bye nnasomesebwa. Endowooza nti Katonda yatonda yali mpya gyendi.

Okuva ku mulimu gwe yakola mu by’obuyinginiya, kyali kyeyoleka bulungi eri Victor nti ebintu tebyekola oba okutereera okuyita mu mikisa egy’ekimpowooze.

Nnakimanya okusinziira ku bumanyirivu nti enkola zonna zeetaaga amagezi, okulowooza nga bukyali, n’okukola enteekataka. Nnali nkimanyi nti ebiseera ebingi ennyo tebijja kutondawo oba kulongoosa kintu kyonna. Nnali nsobola okulaba nti ebiramu bisonga ku butonzi olw’endabika yabyo ey’ekitalo eyewunyisa, nga kyetaagisa ebitundu ebituufu ebingi ennyo okubeerawo byonna mu kiseera kye kimu. Nakizuula nti guno gwali mukisa omuzibe w’amaaso gwatayinza kumala gatuukako.

Naye Katonda yatonda atya? Victor bwe yasoma Olubereberye n’ennyiriri z’obuzaale mu Matayo ne Lukka, yafuna eky’okuddamu. Byonna byali bikola amakulu. Okutegeera obutonzi kwamuwa obwesige bungi mu Kristo.

Olw’okusalawo mu buvubuka bwe okuba n’ensonga eziviirako ebyo byeyali akkiririzaamu, yalya buli kimu eky’Ekikristaayo, nga mw’otwalidde n’ebyo ebitonde. Kati yali asobola okulwanirira okukkiriza kwe.

Bweyagenda mu maaso n’okusoma ennyo, yakula ng’Omukristaayo, ng’atera nokugenda mu misomo omuli n’egya “Creation Ministries International (CMI)”. Kyategeerekeka bulungi eri Victor nti okufuulibwa (evolution), nga kuno kweyasooka okukkiririzaamu emabegako, kwali nga kwesigamiziddwa ku bulimba. Bwatyo bwe Yagamba:

Nnawuniikirira okukizuula nti endagaano enkadde esonga ku Yesu nga Masiya eyasuubizibwa. Kikola amakulu okutegeera Yesu ky’ali ne kye yajja okukola. Era nga kino tekikoma nze kusonyiyibwa bibi byange kwokka, naye nti era nnatondebwa lwa kigendererwa. Awatali Katonda ndi mu kabenje kokka!

Obwagazi obupya

victor-crystal-soo2
Omusumba Victor ne Crystal Soo

Bwe yagenda akula mu kukkiriza, Victor nasalawo okwenyigira ennyo mu buweereza bw’Ekikristaayo, nga ayambako okutandikawo amakanisa, okubuulira n’okukulembera okusomesa Baibuli. Kkampuni ye ey’obwayinginiya bwe yamuwa okukuzibwa mu mirimu gye egy’ensi yonna, yakitegeerawo nti waliwo ekintu ekisinga obukulu ky’alina okukola oba okugoberera. Ekyo kyamuleetera okuweereza Katonda ebisera byonna n’okusimba ekkanisa gy’alimu kati.

Omusumba Soo azuula obukulu bw’okussaawo omusingi omunywevu n’obuweereza bw’Ekikristaayo. Era kino akilaga mu lwatu nti,

Tukimanyi nti Bayibuli ge mazima, era nti ddala ebintu byonna eby’awandiikibwa byaliwo. Naye, abantu leero balina ebibuuzo bingi ebiva mu njigiriza y’ebyokufuliibwa mu buwangwa bwaffe. Tetusobola kumala gagamba nti, ‘Baibuli egamba …’ . Mu nsi ya leero erimu enjigiriza y’okufulibwa, twetaaga okuddamu okusoomoozebwa kwonna okutwolekedde. Tulina okulaga lwaki emboozi y’okwefuulafuula (evolution) ssi ntuufu n’engeri Baibuli gy’ennyonnyolamu obujulizi obuva mu mbeera. Enkola yaffe, nga bwe kiri mu 1 Peetero 3:15, kwe kwanjula amazima nobuvumu era mu kwagala, si nnyo kuwangula empaka wabula okukuuma emikwano n’okubatuusa eri Kristo.”

Y’ensonga lwaki Omusumba Soo n’obwagazi atandika n’ebikwata ku kutonda. “Nzikiriza nnyo nti amakanisa geetaaga okujuliza pulogulaamu zonna ez’abaana n’abavubuka n’amazima ag’omusingi ag’obutonzi bwa Baibuli.” Ekkanisa ye yakola enteekateeka y’oluwummula ey’okukwatagana ng’elabirira abaana okuva ku myaka 3 okutuuka ku myaka 12, bwe batyo bategeere oby’obutonzi. Omusumba. Soo ayongera okunnyonnyola pulogulaamu eno:

Abaana ab’emyaka gya pulayimale nga bayingira mu myaka egy’obuvubuka bakubirizibwa okwetaba mu nteekateeka egenda okumala olusoma lumu, ng’ekwata ku kutonda n’emisingi gy’obukristaayo. Tukizudde nti okugatta kuno ebyeddiini ku kukkiriza, n’obutonzi n’ebyo ebituufu ebikwaata ku kutonda musingi mulungi eri abavubuka nga batandika okusoma kwabwe okwa siniya era nga bagenda mu biseera byabwe eby’omumaaso.

Mu luwummula lw’amasomero, etterekero ly’ebitabo ly’ekkanisa liranga n’okutumbula ebikozesebwa mu kumanya obutonzi, nga biva mu CMI yokka.

church2
Reach Community Church Melbourne Australia eyatandikibwa Omusumba Victor Soo mu 2002
reach-church
Olukungana y’Okusinza mu Reach Community Church

Enkyukakyuka eyeewuunyisa

Enkyukakyuka nga y’amaanyi nnyo ebaddewo mu bulamu bwa Victor Soo! Olw’okuba yali tamanyi nnyo Katonda yatandika okuyiga ebikwata ku Katonda ng’ayita mu mikwano gye egy’Abakristaayo abaamuyita mu kkanisa. Oluvannyuma lw’okujja eri Kristo okukkiriza kwe kwanywezebwa olw’obwesige obweyongera mu kutondebwa kw’Olubereberye. Era olwensonga eno famire ye ekyusiddwa. Enkumi n’enkumi z’abantu bafunye omukisa okuyitira mu buweereza bwe mu Melbourne, Myanmar, ne Philippines. Era Omusumba Soo kati awa obujulizi mu lwatu nti “Nze mmanyi kye nzikirizza.”

Further Reading