Explore
Also Available in:

Omusajja omuyimbi alangirira omutonzi we omukugu.

Ebifaanyi byonna ebyatuweebwa Michael Dooleymichael-dooley-music-man

Emboozi ya Andrew Snowdon n’omuyimbi Michael Dooley.

Michael Dooley mukubi wa nnanga, muyiiya wa nnyimba ate era muwandiisi wa nnyimba eziyimbibwa mu kkanisa(hymns) ate era musomesa wa muziki, eyasomera mu tendekero lya Sydney conservatorium of music and Canberra institute of music and Canberra institute of technology(AdvDipMusA, AMusA). Ebika bya muziki gwa ayiiyiza era n’afulumya ku butambi bye bino; classical, jazz, pop, Celtic, soft rock, Latin, reggae, gospel, rhythm and blues, country, children’s songs, ne world music, okumala emyaka egiwerako, yabeeranga mu south East Asia, India ne mu middle East nga akola muziki wamu n’okubeera mu mirimu gya ba minsani abagabi b’obuyambi, eyo gye yayigira okwogera olulimi olu thai n’oluwalabbu. Mike yawangula APRA/AGSC(Australia’s top screen award) ku lwa muziki wa abaana eyasinga obulungi ku tivi ku lw’obubonera bweyafuna mu 2019 mu film eyalimu obufaananyi bwa abaana The pilgrim’s progress. Ye ne mukyala we babeera mu Caniberra, Australia na abaana baabwe basatu, ne mutabani wa muwala we, gwe balabirira olwe ebizibu by’obulamu bwa maama we.


Wadde yakulira mu maka makulisitaayo era na atandika okugendanga ku kkanisa mu myaka emito, Mike yagamba ye teyali mukulisitaayo.

Banzisaako emikono mu confirimasiyo nga nina emyaka 13 naye mu biseera ebyo nali nafunamu dda okubuusabuusa okwammanyi ku butuufu bw’obukulisitaayo. Nali mbadde nnyo ku tivi nga ndaba nnyo Carl Sagan ne bannassayansi bangi abalala abazibu ku BBC TV abaanyomanga Bbayibbuli nga bagiyita byafaayo. Newankubadde nga abazadde bange baali bakkulisitaayo abalina okwagala era ab’amazima, bo bennyini wamu ne ekkanisa mwetwasabiranga baali babuusabuusa obutuufu bw’ebyo ebiri mu ssuula za Lubereberye ezisookera ddala, nga balowooza nti byandiba bintu ebiringa ebiteeberezebwa. N’olwekyo tebalina nga bya kuddamu eri bibuuzo bya abantu bano abakkiririza mu evolution. Mu myaka gyange emitiini awo egisemberayo ddala nga nvubuka nali nfukidde ddala atakkiririza mu Katonda oba tugambe nali nfuuse omu ku bagamba nti tewali amanyi oba katonda gyali oba taliiyo.

Nga akyagoberera ekirooto kye eky’okufuuka omuyimbi era omukubi w’ebivuga, eky’okumuwa ekifo mu elite Sydney conservatorium kyamusanyusa nnyo, lwakuba ate okusanyuka kwe tekwali kwa kaseera kawanvu nnyo. Nga bw’annyonnyola;

N’awulira nga mpeddemu amaanyi kubanga ne muziki gwe twali tusoma yali muzibu ddala. Nga mpulira nga awatali suubi.nga byetusoma biragira ddala era embeera ye ensi embi, ne nyingira mu kaseera k’obulamu bwange ak’okwekyawa.

Mike yeyongerayo naagamba bwati,

Ekintu ekimu ekyamaanyi ennyo kyambaako bwenagenda ku kivulu kya J.S. Bach’s St John Passion. Nali nsoma akantu akamu mu lungereza akavunulwa okuva mu lu German. Muziki ono yali mulungi nnyo naye ate n’olugero lw’okukomererwa lwankwata nnyo ku mutima gwange.

Mike yayingira ekivulu ng’omuntu atakkiririza mu Katonda naye yagenda okukifuluma nga munda mu mwoyo ggwe agamba nti ‘’ nzikkiriza.” Nga tamanyidde ddala kiki oba lwaki.

“Muziki ne engeri ensi gy’elabamu ebintu”

Ebiseera weyasomera n’omu ku bayiiya b’omu Australia abamanyifu ennyo.

Namubuuza , “Lwaki Batch yayiiya oluyimba olunyuvu, era oluwooma ennyo ate nga lujjudde amakulu bwelutyo? Yantunuulira mu ngeri eyali elabika nga ey’ennaku era nangamba ‘’omanyi ennaku ezo baalina Katonda gwetutakyalina mu nnaku zino.” Ekyo kye kyali ekyokuddamu kye! Gyendi ekyo kyalinga ekitangaala ekitonotono gyendi ekyali kitandise okujja.

Kino kye kyamuleetera okuzuula bino:

Endaba ye ebintu mu nsi esalawo ne muziki bwafaanana. Kakati omuntu bwaba ne endowooza ye ensi egamba nti tetulina gyetwava era tetulina gyetulaga, awandiika muziki amalamu amaanyi era nga tawa suubi. Omuntu alina endowooza nti alina omutonzi we eyamutonda olw’ekigendererwa ajja kuyiiya muziki alimu ekigendererwa era nga ajjudde ne essuubi. Era kye kyo ky’olaba mu bawandiisi be ennyimba ze ekikulisitaayo abamanyi. Wabeerayo obuwanguzi ne essuubi ku nkomerero kubanga ekyo kiraga enzikiriza yabwe ne endaba yabwe eye nsi yabwe.

Okulabula eri abazadde

michael-dooley-family
Michael ne chalsey ate (okuva ku kkono ng’odda ku ddyo) waliwo muzzukulu wabwe Jamie ne batabani baabwe William, Callum, ne Anthony.

Ng’ayesigama ku kino, Mike yagamba nti tetulina kunyooma kabi akasobola okuva mu bigambo ebiyimbibwa mu nnyimba z’omulembe guno zetuyinza okuyita ‘ez’ensi ye ekizikiza.’

Okugeza oluyimba nga olwa John Lennon lwebayita Imagine. Luno oluyimba lugamba nti ‘’kale kubamu akafaananyi singa tewaliyo ggulu nga ne eddini nayo teriwo.” Kwegamba nga tewali Katonda yadde akatono. Lwafuuka oluyimba olwa mannyi ennyo era olwayagalwa ennyo mu gye 70, nga lulina obubaka obulinga obw’emirembe n’okuziyiza entalo, lwawandikibwa bulungi nnyo naye awatali kubuusabuusa era nga lulimu obubaka obw’obuntu obuwakanya okubaayo kwa Katonda nga era bugamba ffe kyokuddamu kyennyini mu buli nsonga etukwatako. Oyinza okuba webuuza amaanyi g’oluyimba olwo ku birowoozo bya abantu mu nsi yonna, naddala abavubuka abato abaaluwulirizanga nebalunywa lwonna nga bwe lwali awatali na kutwala budde kulwetegereza.

Nga abazadde tulina obuvunanyizibwa bw’okulondoola ennyo abaana baffe byebawuliriza. Tulina okubeera nga tufaayo obutalabika nga ababaziyiziyiza ennyo naye era nga tugeezako okunoonya emikisa gyonna okubalaga obubaka obuli mu luyimba lwebaba bawuliriza. Nga twebuuza luli mu kkowe ly’obubaka obw’obwa Katonda bwetubasomesa? Kubanga ndowooza muziki asobola okubeera nga obutwa obukwekeddwa okusaanyawo obulamu bwa abavubuka

Engeri gye nalokokamu

Oluvanyuma lwa episode ya Batch, Mike yangamba, mukwano gwe asinga okuva edda nga bakyali mu high school yamugamba nti yali ayingidde obukulisitaayo.

Neewunya nnyo kubanga twali naye ffembi ku lugendo lw’okunoonya amazima. Amangu ago yambuulira ekigambo kya Katonda nansabira nange ne nzikkiriza okuwa Yesu obulamu bwange-okwo kwali kukyusibwa kwa maanyi nnyo eri obulamu bwange.

Naye nga wayise ennaku ntono, yangamba bwati. “kakati naawe,okkiriza mu nzikiriza ya evolution?’’ nange ne mugamba nti “ye bwekiri” nanziramu nti “kale, nina kyenjagala okukusomerako wano.” Yakisoma akijja mu butabo obwogera ku kutondebwa obwasookera ddala nga tewanabaawo bano banasayansi abawakanya evolution ab’omulembe guno ab’omutindo ennyo betulina mu creation ministries. Naye mu byeyasoma mwalimu saayansi omulungi ennyo era amala n’amazima agamala okuva mu kigambo, ebyandeetera okukkiriza nti ebiri mu Lubereberye bya mazima. Era awo wennyini wenagaanira ebya evolution.

Mike-Dooley-piano

Mike ajjukira essanyu elyammanyi era ery’enjawulo lye yawulira mu kaseera ako. Yalekeerawo okweraba nga ekintu ekyagwa obugwi okuva mu bubenje obwagwawo mu molecules nga zeekolamu omulimu. Mu kifo ky’okulowooza bwatyo yakizuula nti ye kitonde ekyagalibwa omutonzi omulamu era ow’ekigendererwa.

Kaali kaseera ka njawulo nnyo gyendi akaakyusiza ddala obulamu bwange,era awo wennyini wenagambira nti “njagala kuweereza Katonda ono”.

Kakati no ekyo kye yali akola. Yamala emyaka nga asatu mu mawanga eyo nga akola buwereza obw’okuyamba abantu, ate ne bumuleetera okuwulira obulungi ennyo mu ye.

Muziki yamuggulirawo enzigi nnyingi okutambula mu mawanga ag’enjawulo gebatandikki rizaamu njiri. Okukola muziki kyatusobozesa okutuusa obubaka eri abantu ate n’okugabana nabo ekigambo muntu ku muntu n’okugabana nabo enjiri mu bifo ebizibu era ebigaddwa.

Okukiriza nti muziki kirabo ekiva ewa Katonda nakyo kituwadde omwaganya okumenya endowooza ya evolution eyo ewakannya ennyo obukulisitaayo. Mike agamba nti muziki kye kimu ku birabo bya abantu ebyenjawulo ennyo ebitasoboka ku nnyonnyolwa mu evolution.

Kijja kitya nti abantu basobola okukuba ebivuga obulungi ennyo ate nebivaamu amaloboozi amannyuvu ennyo? Singa olowooza ku ngeri abantu gyebaafunamu obusobozi mu muziki buno mu ngeri ya evolution, oba n’osoma litulica akwata ku muziki,olabira ddala nga aba evolution bakootakoota mu ga lumonde.

Bagezaako okunnyonnyola lwaki era tutya okuwuliriza kwaffe okwa music bwekugenda kwezimba muffe, ne engeri ebitundu byaffe ebyenjawulo gye bikwataganamu okusobola okukola muziki.

Ekyewuunyisa abanoonyereza baatandika okunnyonnyola engeri kali akantu k’omu kutu akafuna obubaka ok’omunda gye kakolebwamu bw’okagata ne ngeri obw’ongo bw’omuntu gyebugatagatamu bisobozesa omuntu okwawula engeri eddoboozi gye lyambuka waggulu(pitch) n’okubala notisi mu ngeri essukuluma okubala okwa bulijjo.1 Kyenkana kiba kya bujega okulowooza nti tekinologiya ono yenna owawaggulu bwati yavva mu bintu ebyagwawo obugwi oba enkyukakyuka z’obutonde ennungi.

Ebimu ku bikalubo byenawangula.

michael-dooley

Mike bwatunulamuko emabega alina byajjukiramu ko byeyalwana nabyo okuwangula mu lugendo lwe.

Waliwo akaseera wekatuuka mu lugendo lwange olwekikulisitaayo ne ntandika okubuusabuusaamu ko. Abawandiisi abakkulisitaayo abamu baatandika okuddamu okunnyonnyola Lubereberye nga bamwesigamya ku ‘’bukadde bw’emyaka’’. Byasooka ne birabika nga eby’ensonga.

Kati mba noonyereza okuva mu bifo ebirala ku mutimbagano okwongera okutegeera kino, awo wenagwira ku creation.com, neewunnya nnyo olw’ennyinnyonnyola ennungi eya waggulu ennyo, nga yesigamiziddwa ku byawandikibwa ebirungi ennyo ne enkubaganya ye ebirowoozo ey’ekinnasayansi ennungi. Neeyongerera ddala okugoberera creation.com era ne nsomanga buli kantu kebaateekangayo

Mike agamba nti ebyo professor Stuart Burgess byewandiika ku engineering and design byamuyamba nnyo,2 naddala nga agerageranya okukolebwa kw’omuntu n’obuyiiya.

Ekitundutundu ku bwongo bwaffe,wansi wabwo ebintu ebisinga webikolebwa, waakwasiganyizibwa ne emikono ate nga kino kitundu kya mugaso nnyo mu bik ozesebwa mu buyiiya bwaffe. Naye emikono tegyandibadde na mugaso nyo singa tegirina software omuzibu oyo agitambuza.

Okubunyisa amazima ga bbayibbuli

Okuyiiya kye kimu ku bintu Mike byanyumirwa ennyo okukola. Yayogerako ku perpetua , ekimu ku mirimu gye gyeyakakola jjuuzi wano nga gwali gukwata ku mujjulizi omu omukulisitaayo. Agutwala ng’ogumu ku mirimu gye ogwakasinga okumunyumira, olwo obubaka obwamaanyi ennyo bweyaguyisaamu.

Obubaka bukwata ku kuyimirira olwe ekyo kye ttukiriza ne mu biseera ebya kazigizigi n’okusigala nga tweyisa mu mpisa ez’eggulu mu kifo ky’okweyisa nga ab’ensi era nga tuyimirira n’ekkanisa eyiganyizibwa.

Waliwo oluyimba mike lweyawandiika lukubibwa ku string quintent ne ennanga lwakozesebwa ng’omutwe omukulu ku matikkira agamu mu Univasite emu ennenne mu Australia era yalutuuma One Human Family. Mike agamba bwati:

Oluyimba olwo naluyiiya nsinziira ku kitabo ekyawandiikibwa creation ministries international era nga nakyo kiyitibwa erinnya lye limu ng’oluyimba bweluyitibwa.3 Nina ne layini y’oluyimba olwo gyenajja mu katundu akoogera ku butonde bw’omuntu nkategeka okusinziira ku misono gy’obuwangwa obw’enjawulo.

Wetwogerera kati Mike alina eddimu eddene elya muziki owa kwaya ali mu kika kya classic lyakolako ng’oluyimba yalutumye The Redemption lwogera ku lugero lw’ensi okutondebwa, engeri omuntu gyeyayonona, ne Yesu engeri gyeyatununulamu ku musalaba n’obutonde obujja obugenda okuba nga bwebwali olubereberye. Ffena tumanyi omugaso gw’obubaka bunno obw’okutondebwa mu biro bwe biti, okuva mu 2013 abadde omu ku kabinja ka bakozi ba nnakyewa nga awagira bonna abavaayo okwogera mu buwereza bwaffe ku mikolo egy’enjawulo. Mike agamba bwati:

Ku ludda lwange kyensinga okwewunya bwe buyinza obuli mu byawandikibwa. Amazima gali nti buli Katonda kyayogera akitegeeza era mu buli ngeri awuliziganya naffe. Katonda asobola okutonda ensi mu nnaku mukaaga. Ffe abantu tuyinza okwebuuza oba ekyo kiyinza kusoboka kitya, oba netubuusabuusa nti katonda tasobola kukola kintu ekyo, naye Katonda ye kirimaanyi asinga amaanyi. Ye nannyini maanyi gonna.

Tusoma Lubereberye esuula 1, ate ne tusoma obuzaale ne emirembe gyabwe mu ssuula 5, wano waliwo ebyafaayo ebitegerekeka obulungi. Ebintu bya Katonda bitegerekeka bulungi. Byeyatubuulira byonna bituufu, era Yesu bweyajja, yagamba kitaawe nti”………Ekigambo kyo ge mazima” (Yokaana 17:17b)

Bwotaffa ku mpulira ebigambo bya Katonda gyebituleetera okuwulira nga ayogera naffe, okulumirizibwa okwenjawulo kwetuwulira, otandika okukufiirwa. Okugeza ebintu bino ebikulu nti tukakasibwa nti tuli boononyi era twetaaga omusalaba-twetaaga Yesu ng’omulokozi waffe.

Kino kye kintu kyensinga okwagala ennyo ku CMI- Bakukoleza okussaamu nnyo ekitiibwa ekigambo kya Katonda, n’obuyinza bwakyo mu bulamu bwaffe.

Mike bweyabuuziibwa ebigambo bye ebisembayo, yayogera bwati:

Nze ngamba, omuntu okuba nti alina obusobozi bwokuyiiya n’okukola muziki bujjulizi obulaga amagezi ga Katonda amangi ennyo. Tulina okukozesa muziki okumuggulumiza n’okumwebaza olw’ebirabo bye, n’okusaasanya obubaka bwe obw’obulokozi okumpi ne ewala.

Ekitundu kino kyateekebwa ku mutimbagano nga 16.0ctober. 2023. 

Ebijjuliziddwa ne Notisi

  1. Ebikwata ku bibalo ebikalubamu ebiyiyitibwa fourier transform. Soma Zyga, L., Human hearing beats the Fourier uncertainity principle, phys.org, 4 Feb 2013. Ddayo ku kiwandiiko.
  2. Stuart Burgess mukugu mu bya mechanical engeering mu Bristol University, UK, ekitundu kye yakugukira mu ddala kye kya biomimetics era nga bye bino okukopa enkula ye ebintu ebimu ey’obutonde olw’okugasa omuntu. Genda olabeko ku creation.com/stuart-burgess-biomimetics ne creation.com/prof-stuart-burgess. Ddayo ku kiwandiiko.
  3. Wieland, C., One Human Family, Creation Book Publishers, Powder Springs, GA, 2011. Ddayo ku kiwandiiko.

Further Reading